TOP

Ensonga 4 ezaakubizza KCCA mu za Afrika

Added 6th November 2019

KCCA FC yasubiddwa okugenda mu bibinja by’empaka za kiraabu empanguzi mu Afrika, omulundi ogwokusatu ogw’omuddirihhanwa. Yawuttuddwa Paradou AC (Algeria) ggoolo 4-1.

 Musa Ramathan ng'abuuse omuzannyi wa Paradou mu gwasooka e Lugogo.

Musa Ramathan ng'abuuse omuzannyi wa Paradou mu gwasooka e Lugogo.

Paradou AC 4-1 KCCA

Mu gwasooka e Lugogo, baagwa maliri (0-0). Mu liigi y'e Algeria, Paradou y'esembye nga mu mipiira musanvu erina wiini 2, eteebye ggoolo 3 ne bagiteeba 7.

Okugenda mu CAF Confederations Cup, KCCA yasooka kuwandulwa Petro de Luanda (Angola) mu CAF Champions League, sso ng'omwaka oguwedde yawandulwa Otoho d'Oyo (Congo Brazzaville).

Nga bakubwa Paradou, abazannyi ba KCCA baalaze nti bakyabulamu nnyo okuvuganya mu kikopo kino kuba obwedda balinga abatalina sisitiimu kwe bazannyira, nga n'oluusi omupiira gubatuukako nga tebamanyi kyakugukozesa!

Olw'okuba KCCA erudde mu kikopo kino, yabadde esuubirwa okukaluba nga ne bwe baba bagiwangudde, tebagikubye lukunkumuli lwa ggoolo.

Yasubiddwa obukadde 990 CAF z'ewa buli ttiimu egenze mu bibinja, okwongera okwetegeka.

EBIMU KU BYAKUBIZZA KCCA OKUTUNDA ABAZANNYI

Bwe weggyako abazannyi abalina obumanyirivu ne weesigama ku bato, kitegeeza nti eby'okukola obulungi mu mpaka nga zino osooka n'obivaako n'osooka ozimba ttiimu.

KCCA yeggyako, Allan Kyambadde, Patrick Kaddu, ne Timothy Awany n'ebasikiza Sadat Anaku, Herbert Achai, Musa Ramathan, Samuel Kato, Eric Senjobe, abatalina bumanyirivu mu mpaka zino.

ENTEEKATEEKA EMBI

Nga bamaze okutunda basiniya, Mike Mutebi, omutendesi, yayingira akatale okugula abazannyi kyokka yakikola kikeerezi ate ne be yagula kizibu okubeesigamako.

Kuliko; John Revita, Erisa Sekisambu, Simon Serunkuuma, Omunigeria John Egbuonu Odumegwu ne Kezironi Kizito.

Serunkuuma yekka ye yazannye, naye yabadde ng'atuusa oluwalo kuba 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...