TOP

Acupula ggaasi afumba bamusanze mu Kikoni

Added 8th November 2019

POLIISI ekutte agambibwa okufera abantu ng’abaguza ggaasi ne ‘sirinda’ ez’ebicupuli.

 Amanya

Amanya

Bya PONSIANO NSIMBI
 
POLIISI ekutte agambibwa okufera abantu ng'abaguza ggaasi ne ‘sirinda' ez'ebicupuli.
 
Joseph Amanya 26, omutuuze w'e Ntinda yakwatiddwa poliisi y'e Makerere - Kikoni oluvannyuma lw'okufuna okwemulugunya okuva mu kkampuni ezitunda ggaasi n'abatuuze.
 
Amanya yakwatiddwa ku Lwomukaaga ku luguudo lwa Sir Apollo okuliraana essundiro ly'amafuta erya Oli Com w'abadde akolera.
 
Yasangiddwa ne ‘sirinda' 28 eza ggaasi wa kkampuni ez'enjawulo mu sayizi ez'enjawulo okuli Petrol City, Shell, Olibay, Mogas, Hass ne Mt. Meru ng'ono ye yavuddeko okukwatibwa.
 
Daud Kakeeto akulira ebikwekweto mu kkampuni ya Mt. Meru yategeezezza nti baludde nga bafuna okwemulugunya okuva mu bakasitoma baabwe mu kitundu kino kwe kutandika okusula enkesi okutuusa lwe baakutte Amanya.
 
Elly Ocheny munnamateeka wa Mt. Meru yagambye nti mu bbanga lya mwezi gumu
babadde baakafuna abantu basatu nga beemulugunya ku ggaasi waabwe era baagenzi
okuzuula nga Amanya alina abantu abalala b'akolegana nabo mu bitundu eby'enjawulo.
Yayongeddeko nti ‘sirinda' yaabwe eya kkiro mukaga bagitunda 75,000/- kyokka nga
Amanya ggaasi owuwe amutunda 30,000/-.
 
Luke Owesigyire amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano yakakasizza okukwatibwa kwa Amanya n'ategeeza nti, yagguddwaako omusango gw'okucupula ebintu
ku fayiro SD:15/02/11/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...