TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Eza Uganda obutegesi buzimenyedde bwereere

Eza Uganda obutegesi buzimenyedde bwereere

Added 11th November 2019

Ttiimu za Uganda eza basketball zaasubiddwa okusitukira mu kikopo kya Afrika, bwe zaawuttuddwa Misiri

 Omuzannyi wa Misiri M. Nour ng'ajje omupiira ku Hope Akech owa Uganda

Omuzannyi wa Misiri M. Nour ng'ajje omupiira ku Hope Akech owa Uganda

Basketball wa Afrika 3x3.

‘Quarter - basajja

Egypt 21 -15 Uganda

Semi - bakazi

Egypt 20-17 Uganda

Misiri yalemesezza Uganda okusanyukira ku butaka, bwe yagiwandudde mu mpaka za Afrika eza basketball azizannyibwa basatu ku basatu (3x3). Empaka zino zaabadde Lugogo ku wiikendi.

Basketball ono ayawukana ku wa bulijjo azannyibwa abazannyi bataano buli ludda ng'ono bazannya basatu ku basatu nga bateeba mu ggoolo emu.

Misiri yasookedde ku kuwandula ttiimu ya Uganda e'abasajja ku ‘quarter' bwe baabakubye ggoolo 21-15, ne bazzaako abakazi be baakubye 20 -17 ku semi.

"Babadde bakanyama ate nga balina n'obumanyirivu obutusingako, naye empaka zituyambye okutumbula omuzannyo guno mu ggwanga,"kapiteeni wa Uganda mu basajja, Harry Lubajo, asoma mu Seroma High,  bwe yategeezezza.

Abasajja baamalidde mu kyakutaano mu mpaka ezeetabiddwamu ttiimu z'amawanga 12, ate mu bakazi Uganda yakutte kyakusatu oluvannyuma lw'okukuba Nigeria ku ggoolo 21-15.

Misiri okutwala ebikopo yasoose kukuba bakazi ba Mali ababadde nakyo ku ggoolo 18-15 ate abasajja ne bamegga DR.Congo ku ggoolo 21-12 ku nzannya za fayinolo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Achile (owookubiri ku kkono) ng’ayogera eri bannamawulire. Asooka ku kkono ye Kyomya ate owookubiri ku ddyo ye Mandera Nsubuga.

Aba NRM basabye poliisi obu...

ABAKULEMBEZE b'abavubuka mu kibiina kya NRM mu ggwanga bawanjagidde poliisi okukomya omuze ogw'okulemesanga Robert...

Bp. Lwanga mu kusabira omwoyo gw’omugenzi Nakaggwa. Mu ggomesi wakati ye Zziwa.

Bp. Lwanga avumiridde abeek...

SSAABASUMBA Dr. CyprianKizito Lwanga avumiridde abantu abeekalakaasa ekivaako okulumya abalala n'ategeeza nti balumya...

Bobi Wine ne Dan Magic mu ddwaaliro.

Omukuumi wa Bobi Wine ne Pu...

Pulezidenti w'ekibiina kya NUP alidde kkava ekintu ekibadde ng'esasi bwe kimuyise ku mutwe. Mu kiseera kino abadde...

Ivan Boogere

Yusuf Babu owa COBAP ng'atw...

Mu Afrika U20 Uganda 3-1 Kenya GGOOLO za Ivan Bogere (2) ne Kenneth Semakula zaayambye The Hippos okwesogga...

Yusuf Babu owa COBAP ng'atwalira Paul Kayondo (Lukanga) eng'uumi.

Liigi y'ebikonde ejulidde

EKIBIINA ekitwala omuzannyo gw'ebikonde mu ggwanga ekya Uganda Boxing Federation (UBF) kisazizzaamu liigi yaakyo....