TOP
  • Home
  • Rally
  • Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko

Added 11th November 2019

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko.

 Emmotoka ya Blick (ku kkono) ng'abisanya ne Hassan Alwi eyawangudde e Buloba.

Emmotoka ya Blick (ku kkono) ng'abisanya ne Hassan Alwi eyawangudde e Buloba.

Bwe baakoze e Buloba

H. Alwi/ S. Kyambadde 0:03:39.70

A. Blick/ G. Ssemakula   0:03:45.70

E. Mungyereza/ R. Sirwomu   0:03:51.90

Engule y'ezaakafubutuko bw'eyimiridde

Arthur Blick            87

Hassan Alwi            66

Ronald Ssebuguzi   55

Jas Mangat              55

OLUMALIRIZZA engule y'ezaakafubutuko, kafulu wa mmotoka z'empaka Arthur Blick Jr, obwanga obukyusizza kati abautadde ku ngule ya ggwanga eya National Rally Championship (NRC).

"Obubonero buno bunyambye okunyweza engule yange esoose omwaka guno wabula sigenda kusirika ne mu zaakafubutuko ezisembayo ku nnina okulwana n'omusomi wa maapu wange (George Ssemakula) awangule waakiri engule yaakafubutuko mu basomi ba maapu," Blick bwe yagambye.

Yayongeddeko nti, "Empaka zino zituyambye okulaba kwetubulamu nga twetegekera ezigalawo kalenda ya NRC ezigenda okubeera e Kapeeka. Engule ya NRC nayo ngyetaaga era ngenda kulwana ngitwale."

 mmotoka ya lick ngedduka u katono ye lick Emmotoka ya Blick ng'edduka. Mu katono ye Blick.

 

Blick yamalidde mu kyakubiri mu mpaka za ‘FMU Forest Park Sprint 2' ezaabadde e Buloba ku Ssande. Yafunidde obubonero 15 nga buno bwe yagasse ku 72 bw'abadde nabwo. Mu kibalo, wadde Hassan Alwi yawangudde e Buloba n'aweza obubonero 66, ne bw'anaawangula ezibulayo (Alwi), abeera agenda ku bubonero 86 nga tayisa Blick.

Mu basomi ba maapu, Ssemakula (asomera Blick) akulembedde n'obubonero 70 wabula ng'akyeetaaga okuwangula empaka eziddako kuba asinga Siraje Kyambadde (asomera Alwi) akabonero kamu kokka.

Abavuzi ba mmotoka, bakomawo mu nsiike ku wiikendi ya November 29 - December 1 bwe banaaba balwanira obubonero ku zigalawo kalenda ya NRC. Yassin Nasser ne Arthur Blick be bokka abasigaza obukisa oguwangula engule eno nga Nasser akulembedde n'obubonero 415 ate Blick ali mu kyakubiri n'obubonero 385.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....

Fred Enanga

Ettemu n'okusobya ku baana ...

EBIKOLWA by’ettemu n’okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera by’okwekuuma obulwadde bwa ssenyiga era poliisi...