TOP
  • Home
  • Rally
  • Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona

Added 11th November 2019

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

 Nkata

Nkata

ATAKULABA y'akugaya olugero luno lutuukira ddala ku Paul Nkata eyafumuddwa kiraabu ya Mbarara City oluvannyuma lw'okukubwa BUL FC ggoolo 3-0 ku Lwomukaaga.

Nkata yawebwa ogw'obutendesi bwa Mbarara City mu September w'omwaka guno ng'asikira Brian Ssenyondo eyali akola ng'omutendesi ow'ekiseera. Nkata y'omu ku batendesi abeekolera erinnya bwe yawangulira URA ekikopo kya Kakungulu Cup mu sizoni ya 2013/14. Oluvannyuma yawangulira Tuskey ekikopo kya liigi mu sizoni ya 2015/16.

 tiimu ya barara ity tiimu ya Mbarara City.

Nkata abadde yakatendeka emipiira musanvu ng'awanguddeko gumu gwokka (Busoga United 2-1) e Luzira. Akubiddwa emipiira 4 n'amaliri ga mirundi 2 (URA ne Bright Stars).

 oakim jera ngayavuza omuzibizi wa barara ity Joakim Ojera ng'ayavuza omuzibizi wa Mbarara City

Ttiimu agirese mu kya 12 n'obubonero 10 okuva mu mipiira 12 sizoni eno ng'era bannyini ttiimu bakomezaawo Brian Ssenyondo okutwala kiraabu yaabwe. Enkya Lwakubiri, Mbarara City ekyaza Onduparaka e Kakyeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...