TOP

Mourinho akoonye Guardiola

Added 12th November 2019

Akakuku ka Jose Mourinho ne Pep Guardiola tekasuubirwa kuggwaawo.

 Mourinho ne Pep

Mourinho ne Pep

Ng'ayogera ku buwanguzi bwa Liverpool ku Man City obwabaddewo ku Ssande, Mourinho yakoonye Guardiola nti, "Man City nnungi nnyo okuwolomera wiiki ennamba!

Mu kifo ky'okukaabira ebintu ebyawedde amaanyi agateeke ku kugolola ensobi ezaavuddemu ggoolo," Mourinho bwe yategeezezza ku ttivvi ya Sky.

Yagambye nti ttiimu yonna etekuuma butiribiri Mane, Salah ne Firmino, egwa ku kyokya nga ye nsonga lwaki buli lwe yagisisinkananga yalagiranga abazibizi be obuteesuula bbanga.

Yagasseeko nti Man City yeemalidde nnyo mu kulumba ne yeerabira amaanyi ga Liverpool we gasinga. "De Bruyne ne Gundogan bannemye okutegeera gye baabadde ku ggoolo ya Fabinho," bwe yalambuludde.

Liverpool yawangudde (3-1) ne ggoolo za Fabinho, Salah ne Mane ne yeenywereza ku ntikko ya Premier. Erina obubonero 34, Leicester ne Chelsea 28, Man City 25, Arsenal 17 ne ManU 16

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu