TOP

Sterling azzeemu okugwa Gomez mu malaka

Added 12th November 2019

Omutendesi wa Bungereza, Gareth Southgate aggye Raheem Sterling mu ttiimu ye enettunka ne Montenegro ku Lwokuna lwa kugezaako kutuga Joe Gomez, gwe yabaddeko n’ekiruyi olwa Liverpool okukuba ttiimu ye (Man City) ku Ssande.

Sterling agambibwa nti yasuze n'obusungu nga Liverpool ebawangudde era olwalabye ku Gomez nga bombi bagenze mu kutendekebwa kwa Bungereza ku Mmande, n'amugwa mu malaka.

Bungereza yaakuttunka ne Montenegro mu gusunsula abalyetaba mu mpaka za Bulaaya omwaka ogujja (Euro 2020) era Southgate olwategedde ensonga zino, n'agambirawo nti, "Siyinza kuzannyisa mawale".

Sterling 24, yeetondedde Gomez n'aboomupiira bonna n'agamba nti bamusonyiwe kuba mu mupiira ebyo byonna bibeeramu naye obusungu bwajjidde mu butikitiki butono ate n'akyejjusa nga kati asaba bagende mu maaso n'okunyumirwa omupiira.

Sterling yava mu Liverpool okwesogga Man City era ensiike y'oku Ssande yagimazeeko abawagizi ba Liverpool bamuvuma n'okumung'oola. Liverpool ekulembedde Premier, esinga Man City obubonero 9.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...