TOP
  • Home
  • Akadirisa
  • Bassita ba Bungereza banenyezza Southgate okugoba Sterling ku y'eggwanga

Bassita ba Bungereza banenyezza Southgate okugoba Sterling ku y'eggwanga

Added 12th November 2019

EKIKOLWA ky’omutendesi wa Bungereza, Gareth Southgate okuggya Raheem Sterling mu ttiimu egenda okuttunka ne Montenegro ku Lwokuna kinyiizizza bassita baayo nga bagamba nti yapapidde akasongasonga.

 Sterling

Sterling

EKIKOLWA ky'omutendesi wa Bungereza, Gareth Southgate okuggya Raheem Sterling mu ttiimu egenda okuttunka ne Montenegro ku Lwokuna kinyiizizza bassita baayo nga bagamba nti yapapidde akasongasonga.

Southgate yawanduukuludde Sterling olw'okukwata muzannyi munne, Joe Gomez amataayi nga basisinkanye mu kutendekebwa kw'oku Mmande.

Sterling owa Man City, yabadde akyaliko obusungu bwa Liverpool okubawangula (3-1) ku Ssande era nga mu nsiike eyo, ye ne Gomez waliwo lwe baali babulako akatono okwegwa mu malaka.

Jordan Henderson, kapiteeni wa Liverpool ate nga yaliko owa Bungereza, y'omu ku baayise ensonga za Sterling ‘akasongasonga' nga yagenze kipayoppayo eri abazannyi bombi okubatabaganya.

Sterling naye yeetondedde Gomez nti obusungu bwe bwamukozezza atyo kyokka nti bino bibaawo bulijjo mu mupiira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...