TOP

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup

Added 12th November 2019

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup

Mary Nakyeyune
 
Ekikopo ekituumiddwa Mary Begumisa Cup  ekiwakanirwa mu buli ggombolola mu ssaza ly'eMawogola South mu Sembabule District kituuse mu gombolola y'eMateete Rural nga ttiimu 28 ze zivuddeyo okuvuganya mu gw'abasajja ng'ogwabakazi ttiimu 12 ze zeewandisizza.

Ekikopo kino kigguddwawo omukyala Mary Begumisa ng'ali wamu n'omwami we Wilberforce Begumisa ku kisaawe e Misojo mu ggombolola y'eMateete Rural mu gw'abasajja ttiimu ya mateete fc ne Misojo ze zisooseewo nga tewali alabye katimba ka munne.

Mu gw'abakazi ttiimu ya Mateete ne Kasambya ze zisoosewo nga mateete ewangudde Kasambya Ku goolo 14-13 nga kino kya kukomekerezebwa ku lusooka omwaka 2020 ng'ekya Lwebitakuli Nakasenyi kyo kya kukomekereza ku Christmas.

Oluvannyuma Mary Begumisa alambuludde ekigendererwa ky'emipiira gino, kwe kusitula ebitone n'okuyambako ababa basinze ku bannaabwe okuddayo okusoma ng'abe Mateete bafunyeewo omuyizi omu Namuno Brenda asinze Ku bannabwe okubaka nga yeewangulidde Bbasale okusoma paka Ku yunivasite nga ne ttiimu zonna ezeetabye mu mpaka emateete azikwasizza emipiira.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...