TOP

Golola asiimye omutindo gw'abazannyi be

Added 13th November 2019

Golola atunuulidde kuwangula liigi sizoni eno olw’omutindo ogw’enjawulo gwataddewo ng’omutendesi wa Vipers eyasemba okuwangula ekikopo kino mu sizoni ya 2017/18 wansi w’omutendesi Miguel Da Costa.

Bashir Asiku (ku kkono) owa Vipers ng'attunka ne Shafiq Kagimu (ku ddyo) owa URA.

Bashir Asiku (ku kkono) owa Vipers ng'attunka ne Shafiq Kagimu (ku ddyo) owa URA.

OMUTENDESI wa Vipers Edward Golola atenderezza omutindo abazannyi be gwe bayolesezza nga bamegga batabani ba Sam Simbwa aba URA eggulo (Lwakubiri) mu liigi ya Startimes e Kitende. Vipers yeenywerezza ntikko ya liigi'ekimeza.

Vipers y'ekulembedde liigi n'obubonero 33 okuva mu mipiira 13 nga bukyanga sizoni eno etandika, tebannakubwamu mupiira gwa liigi ng'oggyeeko amaliri ga Onduparaka, SC Villa ne Mbarara City.

 olola    Golola

Golola atunuulidde kuwangula liigi sizoni eno olw'omutindo ogw'enjawulo gwataddewo ng'omutendesi wa Vipers eyasemba okuwangula ekikopo kino mu sizoni ya 2017/18 wansi w'omutendesi Miguel Da Costa.

Ku Lwomukaaga bakyalira bannantameggwa ba liigi aba KCCA e Lugogo mu mupiira ogw'obugoombe kuba ttiimu zonna zeetaaga obubonero naddala KCCA eyaakazannya emipiira emitono.

KCCA egenda kusubwa bassita baayo; Allan Okello, Nicholas Kasozi ne Charles Lukwago abali ne ttiimu y'eggwanga nga yeetegekera omupiira gwa Malawi ku Ssande so nga Vipers yaakusubwa omuteebi Fahad Bayo ne Halid Lwalilwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...