TOP

KCCA efukamizza Express

Added 13th November 2019

KCCA FC esuzze mu kyamwenda oluvannyuma lw'okumegga Express ku ggoolo 3-1.

 Disan Galiwango owa Express Fc (wakati) ng'alwanira omupiira ne Erisa Sekisambu (ku kkono) ne Filbert Obenchan aba KCCA FC.

Disan Galiwango owa Express Fc (wakati) ng'alwanira omupiira ne Erisa Sekisambu (ku kkono) ne Filbert Obenchan aba KCCA FC.

Express 1-3 KCCA

Police 4-0 Tooro Utd

Villa 1-1 BUL

Ggoolo ya Sadat Anaku, Mike Mutyaba ne Muhammed Yiga (eya kyeteeba) ze ziyambye KCCA okufukamizza Express ku ggoolo 3-1 mu mupiira gwa liigi ogubadde e Wakiso ku Kyabagu Stadium.

Oluvannyuma lw'okulumbibwa ennyo, Frank Kalanda yafunidde Express ggoolo eyabayambye obutava Wakiso ngalonsa. Ggoolo eno ebadde ya peneti eyaleteeddwa Filbert Obenchan eyatemulidde Joseph Sennyondo mu ntabwe ya KCCA.

Obuwanguzi buno, busitudde KCCA ne bugitwala mu kyokutaano ku bubonero 19 okuva mu mipiira 9. Mu mipiira emirala, Police awatali mutendesi waayo Abdallah Mubiru, ekubye Tooro United ggoolo 4-0 ezigiyambye okuweza obubonero 8.

Mubiru ali ne Cranes gy'akola ng'omumyuka wa Johnathan McKinstry nga leero John Luyinda yaabadde ku katebe ng'omutendesi wa Police. Andrew Samson Kigozi (ggoolo 2), Ben Ocen ne Musa Matovu be bateebedde Police.

SC Villa eremaganye ne BUL ggoolo 1-1. Richard Wandyaka ye yasoose okufunira BUL ggoolo mu ddakiika y'e 74 wabula wayise eddakiika 2 zokka, David Owori n'afunira Villa ey'ekyenkanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...