TOP

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

Added 14th November 2019

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala Pulezidenti w’eggwanga eryo ave mu ntebe.

 Ttiimu ya Chile eyatwala Copa America.

Ttiimu ya Chile eyatwala Copa America.

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala Pulezidenti w'eggwanga eryo ave mu ntebe.

Abazannyi bano okuli ne bassita, kapiteeni Claudio Bravo (Man City) ne Arturo Vidal owa Barcelona, baagaanyi okuzannya omupiira ogw'omukwano ogubadde gutegekeddwa ne Peru mu kibuga ekikulu Lima (ekya Peru).

 idal Vidal

 

Bannansi ba Chile bamaze wiiki ssatu nga beekalakaasa nga baagala Pulezidenti waabwe, Sebastien Pinera alekulire olw'okulinnyirira eddembe ly'obuntu.

Abantu 23 bafiiriddemu ate abasoba mu 2000 ne bafuna ebisago eby'amaanyi.

Chile yasazizzaamu omupiira ogw'omukwano gwe yabadde ekyalizaamu Bolivia e Santiago nga ku Mmande ebadde yaakukyalira Peru. Abazannyi bonna abaayitibwa babadde bazannyira bweru wa Chile era ekiwandiiko ky'ekibiina ekifuga omupiira kyagambye nti baalagiddwa okudda mu kiraabu zaabwe kyokka tekyawadde nsonga yabagobezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...