TOP

Eza basketball zirwanira fayinolo

By

Added 14th November 2019

City Oilers enoonya kikopo kyamusanvu mu liigi ya basketball

 David Opolot owa Powers (ku kkono) ng'agezaako okuyita ku muzannyi wa City Oilers.

David Opolot owa Powers (ku kkono) ng'agezaako okuyita ku muzannyi wa City Oilers.

Mu ‘Play offs' za Basketball

JKL Lady Dolphins 54-46 KIU Rangers

UCU Canons 56-59 Betway Powers

Ku Lwokutaano

KCCA - UCU Lady Canons

City Oilers - Worriors

BANNANTAMEGGWA ba liigi ya basketball emirundi mukaaga egy'omuddiring'anwa aba City Oilers bakomawo leero mu nsiike okulwanirira ekikopo ekyomusanvu.

Semi za liigi ya Basketball zaatandise ku Lwokusatu mu MTN Arena, nga buli ttiimu erwana bwezizingirire okutuuka ku fayinolo z'abasajja n'abakazi.

Mu bakazi,  KCCA, UCU Lady Canons, KIU Rangers ne JKL Lady Dolphins abalina ekikopo kino be babbinkana, ate mu basajja  Kyambogo Worriors, UCU Canons, Betway Powers ne City Oilers be bali mu lwokaano.

 mutendesi ande uruni owa ity ilers mu mujoozi omumyuufu ngawa abazannyi be ebiragiro Omutendesi Mande Juruni owa City Oilers (mu mujoozi omumyuufu) ng'awa abazannyi be ebiragiro

 

Ensiike abawagizi gye basinze okwesunga ya City Oilers ng'ettunka ne Worriors bwe batalima kambugu.  Abawagizi ba ttiimu ezaavaako abasinga bali ku ludda lwa Worriors nga baagala ebakomeze ejoogo lya City Oilers eyeefuze liigi eno emirundi mukaaga egy'omuddiring'anwa.

Ttiimu zonna eziri ku ‘Semi' zaakwezannya emirundi esatu okufunako abanaatuuka ku fayinolo.

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....