TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Plascon enoonya buwanguzi ku Ndejje mu Big League

Plascon enoonya buwanguzi ku Ndejje mu Big League

By

Added 14th November 2019

Omutendesi wa Kansai Plascon omuggya asuubizza okufiira ku Ndejje, afunire ttiimu ye obuwanguzi

Henry Mugoya mu maaso ng'attunka ne Peter Omollo owa Kitara

Henry Mugoya mu maaso ng'attunka ne Peter Omollo owa Kitara

Leero (Lwakuna) mu Big League

Ndejje University - Kansai Plascon

Paidha B.A - Doves All Stars

Bukedea T/C - MYDA

Savior - Kiboga Young

Kigezi Home Boys - Nyamityobora

TTIIMU ya Kansai Plascon, ezannyira mu Big League, ewonyezza Felix Ssekabuuza, akatebe bw'emuwadde ogw'obutendesi ku ndagaano ya myaka ebiri.

Ssekabuuza, eyazze mu bigere bya Angelo Lonyesi,  abadde amaze omwaka mulamba nga talina mulimu okuva sizoni ewedde lwe yava mu Kiboga Young.

Leero ku Lwokuna, Plascon ekyalira Ndejje Universit, eyaakasalwako okuva mu ‘Super' era omutendesi Ssekabuuza awera okwolesa bukugu okufunira bakama be obuwanguzi.

Obuwanguzi bwa Ndejje bugitwala ku ntikko y'ekibinja kya Rwenzori ate obwa Plascon bugiteeka mu bifo ebitaano ebisooka. UPDF yeekulembedde ekibinja kino n'obubinero 14, Kitara  (13), Kigezi Home Boyz (13) Ndejje(12)  ate Plascon (7) mu kyomukaaga.

 elix sekabuuza atendeka lascon Felix Ssekabuuza, atendeka Plascon

 

"Omutindo gw'abazannyi si mubi, nneetaaga kwongeramu ebintu ebitonotono  okunkolera kye njagala okusobola okwesogga ‘Super' sizoni ejja," Ssekabuuza bwe yategeezezza.

Raymond Komakech, atendeka Ndejje agamba nti ekitundu ekisooka kibakaluubiriddemu wabula kati beetegekera kyakubiri naye ogwa leero balina okuguwangula okudda ku ntikko.

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...