TOP

Eyawangudde eza golf ayagala za pulofeesono

Added 18th November 2019

Omuzannyi wa West Nile alaze abalala nti baabigere bw'awangudde empaka za mirundi ena

 Joseph Cwinyai ng'azannya

Joseph Cwinyai ng'azannya

Bya BRUNO MUGOODA

JOSEPH Cwinyai okuva mu kitundu kya West Nile, yasitukidde mu mpaka a golf eza ‘Kakira Open', n'alaga abalala nti baabigere. Zaakomekerezeddwa ku kisaawe kya Jinja Club ku Lwomukaaga.

Cwinyai yakubye Christopher Baguma ku mpiki 10-9, mu play offs, oluvannyuma lwa bombi okusibagana ku mpiki 147 mu bunnya 36.

'' Oluvannyuma lw'okuwangula empaka za Masindi Open , Mayombo Open,  Entebbe Open ne Kakira Open, kati essira ng'enda kuliteeka ku kufuuka ‘pulo', nsobole okutuukiriza ebirooto byange," 'Cwinyai bwe yategeezezza.

Ye David Kamulindwa owa kiraabu ya Tooro yakubye empiki 140 n'asitukira mu ngule ya ba pulofeesono, bwatyo n'awangula kavvu wa nsimbi obukadde 3,750,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuserikale ng'ayingiza Mabaale  mu kaduukulu.

Eyateeze muliraanwa n'amute...

POLIISI y’e Mpigi ekutte omutuuze n’emuggalira lwa kukakkana ku muliraanwa we n’amutema ejjambiya ku nsingo n’ekigendererwa...

Asooka ku kkono ye mumyuka w'akulira yunivasite ya UCU, Prof. Aaron  Mushengyezi ate asooka (ku ddyo) ye Ndyanabo.

Vision Group enywezezza enk...

YUNIVASITE ya Uganda Christian University eyongedde okunyweza enkolagana yaayo ne Vision Group. Enkolagana eno...

Sipiika Jacob Oulanyah.

Omumyuka wa Sipiika wa Pala...

OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah era nga yeegwanyiza n’entebe ya Sipiika mu kisanja kya Palamenti...

Christine Luttu, Pulezidenti wa Rotary Club y'e Kololo ng'akwasa Charles Mugme (ku ddyo) engule.

Bannalotale basiimiddwa olw...

ABALOTALE ye Kololo basiimye abamu ku bammemba baabwe abakoleredde ennyo ekibiina kyabwe mu kutuusa obuweereza...

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...