TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Benzema ebya ttiimu y'eggwanga abyenenye

Benzema ebya ttiimu y'eggwanga abyenenye

Added 18th November 2019

Karim Benzema yasoowagana ne muzannyi munne Mathieu Valbuena nga bali ku ttiimu y'eggwanga n'asaasaanya akatambi ke ng'asinda omukwano n'omukazi

 Benzema azannyira Real Madrid e Spain.

Benzema azannyira Real Madrid e Spain.

OMUTENDESI wa Algeria Djamel Belmadi agambye nti teyeetaaga kuleeta Karim Benzema mu ttiimu ye kubanga alina abateebi abamala.

Algeria, be bakyampiyoni b'ekikopo kya Afrika era Djamel agamba nti ttimu eyo okusingira ddala abateebi b'alina, basobolera ddala okukola omulimu gw'okuteeba ggoolo eziyamba ttiimu eno.

Kiddiridde omutendesi wa Bufalansa, Didier Deschamps okuddamu okugaana Benzema ku ttiimu ebadde ezannya emipiira gy'okusunsulamu abalizannya emipiira gya Bulaaya.

Wano Benzema we yeekubiridde enduulu n'assa obubaka ku ‘social Media' ng'agamba abakulira ttiimu y'eggwanga eya Bufalansa okumukkiriza okuzannyira eggwanga eddala bwe baba tebakyamwetaaga ku ttiimu yaabwe.

 enzema ku kkono ne albuena mu nkambi ya ufalansa mu 2013 Benzema (ku kkono) ne Valbuena mu nkambi ya Bufalansa mu 2013.

 

Benzema, 31, yasemba okuzannya eggwanga lya Bufalansa mu 2015 oluvannyuma lw'okuzuulibwa nti yasaasaanya akatambi k'ensonga z'omukwano aka muzannyi munne Mathieu Valbuena.

Okuva olwo abadde taddangamu kuyitibwa ku y'eggwanga.

Mu kwanukula, akulira omupiira mu bufalansa, Noel Le Graet yagambye Benzema nti eby'okuddamu okuzannyira ttiimu y'eggwanga abiveeko ng'embwa bwe yava ku nseko.

Omuteebi wa Real Madrid y'oku ku basinga entomo mu Bulaaya kyokka okuva lwe yagwobwa, ttiimu ya Bufalansa etuuse ku fayinolo ya Euro eya 2016 sso nga ne mu 2018, yawangula World Cup nga Benzema taliimu.

Mu liigi ya Spain, Benzema y'akulembedde abateebi nga mu mipiira 13 gye baakazannya, yaakateeba ggoolo Mwenda.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...