TOP
  • Home
  • Akadirisa
  • Ronaldo tasaanira ya buzannyi bwa nsi yonna - Iker Casillas

Ronaldo tasaanira ya buzannyi bwa nsi yonna - Iker Casillas

Added 18th November 2019

Iker Casillas, eyali kapiteeni wa Cristiano Ronaldo mu Real Madrid, amuvuddemu nti tasaanira ngule ya buzannyi bwa nsi yonna (Balon D’or) ne yeebuuza n’engeri erinnya lye gye lyateekebwa ku ga Lionel Messi ne Virgil van Dijk.

 Ronaldo

Ronaldo

Ggoolokipa wa FC Porto ono, yagambye nti Ronaldo talina mupiira gwa maanyi gwe yazannya sizoni ewedde n'eno wadde nga Juventus yawangula ekikopo kya liigi e Yitale.

"Messi yawangula engule ya FIFA, Van Dijk n'awangula engule ya Bulaaya (UEFA), kati Ronaldo abeera atya ku lukalala? Okumulonda tubeera ng'abatalina kye tugoberera.

Si buli muzannyi nti alina okuvuganya ku Balon D'Or," Casillas bwe yayongedde okukkatira Ronaldo n'abuuza nti, "Kya tteeka nti abavuganya balina kuwera basatu?"

Omuwanguzi w'engule ya Balon D'or waakulangirirwa nga December 2 nga Messi, ssita wa Barcelona ne Van Dijk owa Liverpool kwe kusuubirwa okuvaako agitwala.

Messi yayamba Barcelona okuwangula liigi y'e Spain ate ye yasinga okuteeba ggoolo mu liigi 5 ezisinga amaanyi mu Bulaaya sso nga Van Dijk yatuusa Liverpool ku kikopo kya Champions League ne Budaaki ku fayinolo ya UEFA Nations League.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...