TOP

Gary Neville anyiizizza aba ManU

Added 18th November 2019

Abawagizi ba ManU balangidde eyali kapiteeni waabwe, Gary Neville okubeera kalinkwe era munnanfuusi olw’okuwagira famire ya Glazer, nnannyini ttiimu eno.

Neville, omu ku baayamba ttiimu eno okukukumba ebikopo mu sizoni ya 1998-99, awagira ekya famire ya Glazer okutunda ttiimu eno, abawagizi kye bawakanya.

Kigambibwa nti Ba Glazer balina entegeka z'okutunda ManU eri Sheikh Mohammed bin Salman, alinze okusikira Nnamulondo y'Obwakabaka bw'e Saudi Arabia.

Ba Glazer balina ebbanja lya pawundi obukadde 204 era Glazer yagambye nti bwe kiba ng'okutunda ttiimu eno kye kinaalimalawo, kirungi.

Yabawolerezza nti si be bannannyini ttiimu ya mupiira abakyasinze obubi, ekinyiizizza abawagizi ne bagamba nti, "Gary alaze ki ky'ali. Tasaanira kussibwamu kitiibwa muwagizi yenna owa ManU kibanga munnanfuusi."

Omumerika Malcolm Glazer yagula ManU mu 2005 kyokka oluvannyuma lw'okufa, batabani be; Joe ne Avram kati be bagiddukanya.

ManU yaamusanvu mu Premier ng'erina obubonero 16 mu mipiira 12. Liverpool ekulembedde erina 34 mu mipiira gye gimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...