TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Onyango n'abawagizi basiimye ebitone ebizze ku Cranes

Onyango n'abawagizi basiimye ebitone ebizze ku Cranes

Added 18th November 2019

Bayo, yazannye eddakiika 90 so nga Okello yazannyeko 25 oluvannyuma lw’okuyingira mu kifo kya Kizito Luwagga.

 Onyango (ku kkono) n'abawagizi abaabadde e Namboole.

Onyango (ku kkono) n'abawagizi abaabadde e Namboole.

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango atenderezza omutindo gwa Allan Okello ne Fahad Bayo gwe baayoleseza ku mulundi gwabwe ogwasoose okuyitibwa ku ttiimu enkulu. Bano baabadde mu mupiira nga Cranes emegga Malawi (2-0) e Namboole ku Ssande.

Bayo, yazannye eddakiika 90 so nga Okello yazannyeko 25 oluvannyuma lw'okuyingira mu kifo kya Kizito Luwagga.

 ayo ngajaganyizza ggoolo ye u katono ye kello Bayo ng'ajaganyizza ggoolo ye. Mu katono ye Okello.

 

Onyango agambye nti buli muzannyi aweebwa omukisa agukozese kuba ttiimu erina abazannyi abazannyira mu liigi y'awaka abalina ebitone. "Nsanyukidde nnyo omutindo Okello gwe yayolesezza kuba ku myaka gye nga gwe mulundi ogusooka ku Cranes nabadde sikimusuubiramu."

Bayo yateebye ggoolo ye eyasoose mu kampeyini eno mu ddakiika ey'e 66 so nga ye Okello katono asse abawagizi essanyu olw'engeri obwedda gye yeekiririzzaamu ng'akutte omupiira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fred Enanga

Ettemu n'okusobya ku baana ...

EBIKOLWA by’ettemu n’okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera by’okwekuuma obulwadde bwa ssenyiga era poliisi...

Police FC eyongedde okwenyweza

MU KAWEEFUBE wa Police FC ezannyira mu Star times Uganda Premier League okwetegekera sizoni ejja 2020/2021, basonjodde...

Nakaayi ng'ali mu nsiike ne Nannyondo

Nakaayi yeebugira mpaka z'e...

MUNNAYUGANDA omuddusi Halima Nakaayi ali ku ssaala okulaba ng’emisinde gya ‘Diamond League’ gibeerawo mu kibuga...

Minista Haruna Kasolo ng'asomesa ku kwekulaakulanya n'enkozesa y'ensimbi za MYOOGA

Abatuuze b'ekira basomesedd...

MINISITA omubeezi akola kunsonga z'ebibiina byobwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, akubiriza abantu okwebereramu nga...

Aba Twaweza bafulumizza ali...

KUNOONYEREZA kuzudde nti ab’enganda okusaba abantu babwe sente okubayambako okuvvuunuka embeera kifuuse kyabulijjo...