TOP
  • Home
  • Akadirisa
  • Messi n'era ayongedde okusiiwuuka empisa mu gwa Uruguay

Messi n'era ayongedde okusiiwuuka empisa mu gwa Uruguay

Added 19th November 2019

Yateebedde Argentina ggoolo eyagiyambye okulemagana ne Uruguay (2-2) ku Mmande kyokka n’agugulana n’omuteebi wa Uruguay, Edson Cavani.

 Messi

Messi

Ssita wa Argentina, Lionel Messi azzeemu okusiiwuukira empisa mu kisaawe.

Yateebedde Argentina ggoolo eyagiyambye okulemagana ne Uruguay (2-2) ku Mmande kyokka n'agugulana n'omuteebi wa Uruguay, Edson Cavani.

Nga Argentina ewangula Brazil (1-0) wiiki ewedde, Messi ye yateeba kyokka era n'agugulana n'omutendesi wa Brazil, Tite gwe yalagira asirikeko ng'akozesa akabonero k'engalo.

Emipiira gino ebiri egy'omukwano, Messi gye yakomeddewo okuva ku kkoligo ly'emipiira ebiri egyamuwerwa olw'okulangira abakulira omupiira mu South America nti bazinira ku ntoli za Brazil. Kino kyaddirira Brazil okuwangula Argentina ku semi ya Copa Amerika, Messi n'alumiriza ddiifiri nti yabasaliriza.

Messi azannyira mu Barcelona ate Cavani ali mu PSG.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.