
Abazannyi ba Kitara nga bibasobedde
FUFA egenda kukangavvula ttiimu ya Kitara ne Doves olw'okugaana okumalako okuzannya eddakiika 90 bwe baabadde battunka mu mupiira gwa Big League.
Ekitundu kya Big League ekisooka sizoni eno kyakomekkerezeddwa ku wiikendi n'emipiira ebiri, wabula ogwa Kitara ne Doves tegwawedde oluvannyuma lw'abazannyi okudduka mu kisaaw olwa ttiyaggaasi okukibuutikira, poliisi y'e Hoima bwe yabadde egoba ababbi ba bodaboda.

Omupiira ogwabadde mu ddakiika ya 40 nga Kitara egukulembedde ggoolo 2-0, gwayimiridde okumala eddakiika 15, wabula oluvannyuma ddiifiri Deogratius Opio n'alagira ttiimu okudda mu kisaawe, kyokka ne bagaana.
"Twabadde tetusobola kuddamu kuzannya ng'abazannyi baffe bana bakoseddwa ttiyaggaasi," Noah Mugerwa, atendeka Doves bwe yategeezezza.

Ye Joshua Atugonza, maneja wa Kitara agamba nti baabadde beetegefu okuddamu okuzannya era baabadde mu kisaawe okutuusa eddakiika 90 lwe zaaweddeyo, wabula tebamanyi ddiifiri kye yawandiise mu lipooti.
"Okugaana okuzannya omupiira musango. Ttiimu zombi tugenda kuziyita mu kakiiko akakwasisa empisa nga tetunnasalawo kyankomeredde," Aisha Nalule akulira empaka mu FUFA bwe yagambye.