TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Ey'abakazi emaliridde okwesogga semi za CECAFA

Ey'abakazi emaliridde okwesogga semi za CECAFA

Added 19th November 2019

Crested Cranes, ttiimu y'abakazi ey'omupiira, ewera kufiira ku Ethiopia yeeyongereyo mu za CECAFA Women Challange Cup 2019

 Fauzia Najjemba owa Crested Cranes yasala omuzannyi wa Ethiopia n'amuleka ku ttaka, bwe baasisinkana mu z'okusunsulamu abalizannya emizannyo gya Olympics, mu April

Fauzia Najjemba owa Crested Cranes yasala omuzannyi wa Ethiopia n'amuleka ku ttaka, bwe baasisinkana mu z'okusunsulamu abalizannya emizannyo gya Olympics, mu April

Egyazannyiddwa

Uganda 13-0 Djibouti

Ethiopia 0-2 Kenya

Leero (Lwakubiri)

Kenya - Djibouti, 8

Uganda - Ethioipia 10:30

TTIIMU y'eggwanga ey'omupiira ey'abakazi, The Crested Cranes, ewera kwesasuza Ethiopia eyagiremesa okwetaba mu mizannyo gya Olympics.

Crested Cranes esamba Ethiopia (leero (Lwakubiri), mu mupiira ogwokubiri mu kibinja B, mu mpaka z'omupiira gw'abakazi mu mawanga g'obuvanjuba n'amasekkati ga Afrika, 'CECAFA Women Challenge Cup 2019', eziyindira mu kibuga Dar es Salaam, mu Tanzania.

Mu gwasoose ku Ssande, Uganda yakomeredde Djibouti ggoolo 13-0, nga kati yeetaaga kuwangula Ethiopia yeesogge semi. Ethiopia, eyakubiddwa Kenya 2-0, singa Uganda egidda mu biwundu, mu gusembayo ejja kuba etuusa mukolo.

 mutendesi wa rested ranes ku kkono nomu ku bayambi be yub halifa nga begeyamu mu kutendekebwa Farida Bulega, omutendesi wa Crested Cranes (ku kkono) n'omu ku bayambi be, Ayub Khalifa beegeyamu.

 

Uganda erina ekkonda ku Ethiopia olw'okugiwandula mu z'okusunsulamu z'emizannyo gya Olympics egigenda okubeera e Japan omwaka ogujja, bwe yagikuba ku mugatte gwa ggoolo 4-2 mu April. Ethiopia yawangula 3-2 mu Addis Ababa ate bwe yakyala e Kampala  n'ewangula 1-0.

Omutendesi Farida Bulega essuubi limuli mu bateebi be abaayolesezza  omutindo omusuffu nga bawuttula Djibouti. Juliet Nalukenge yateebye ggoolo 5, Hasifa Nassuuna ne Fazila Ikwaput, 3 buli omu, ate Fauzia Najjemba ne Amina Nababi buli omu yateebye ggoolo emu.

Uganda esembyayo Kenya ku Lwokuna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba Twaweza bafulumizza ali...

KUNOONYEREZA kuzudde nti ab’enganda okusaba abantu babwe sente okubayambako okuvvuunuka embeera kifuuse kyabulijjo...

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...