TOP

Nkumba ekikoze n'era

By

Added 19th November 2019

Ttiimu ya Nkumba university ewangudde ekikopo kya liigi ya volleyball omulundi ogw'okusatu ogw'omuddiring'anwa.

 Abazannyi n'abawagizi ba Nkumba mu ssanyu

Abazannyi n'abawagizi ba Nkumba mu ssanyu

 

Mu Liigi ya Volleyball

Nkumba 2-0 KCCA

ENDUULU yabuutikidde MTN Arena e Lugogo ng'abawala ba Nkumba University beddiza ekikopo kya liigi ya volleyball omulundi ogwokusatu ogw'omuddiring'anwa. Baakubye KCCA  wiini 2-0.

Fayinolo zaaggulwawo ku Lwokuna lwa wiiki ewedde, nga ttiimu zombi zirina okwezannya emirundi esatu, wabula ogwokusatu tegwazannyiddwa oluvannyuma lwa Nkumba okuwangula ensiike ebbiri ezaasoose  ku wiini 3-1 ne 3-0.

Joan Nabbuto, kapiteeni wa KCCA yeekazizza ng'ekigendererwa kyabwe sizoni eno bwe kyali eky'okutuuka ku sem' era okutuuka ku fayinolo bw'abadde buwanguzi.

"Tetwejjusa wetutuuse sizoni eno, naye batulinde sizoni ejja," Nabbuto bwe yategeezezza.

 bazannyi ba kumba nekikopo Abazannyi ba Nkumba n'ekikopo

 

Doreen Akiteng, kapiteeni wa Nkumba agamba nti kino babadde bakisuubira kubanga ttiimu yaabwe ebadde ku mutindo gwa waggulu ate ng'ezannyisa bumalirivu.

"Kino kati kiwedde, twagala kukolerera ‘quarter' za 'African Club Championship', tubadde tetuva mu kibinja naye ku luno twewulira eryanyi," Akiteng bwe yakkaatirizza.

Kino kye kikopo kya Nkumba ekyomusanvu bukya liigi eno etandika mu 1999.

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...