
Abatendesi basatu (3) basongeddwaamu olunwe okuvaako amusikira singa West Ham ewangula Spurs ku Lwomukaaga.
Bano ye; Eddie Howe atendeka Bournemouth, Carlo Ancelotti owa Napoli, ne Julian Nagelsmann owa RB Leipizg.
Pochettino, eyatuusa Spurs ku fayinolo ya Champions League n'ekubwa Liverpool sizoni ewedde, alemeddwa okugizza ku mutindo nga kati ya 14 mu Premier eya ttiimu 20.
Erina obubonero 14 mu mipiira 12 nga Liverpool ekulembedde egisinga obubonero 20.