TOP

Owa KCCA yeesunga kukaabya URA

Added 19th November 2019

Oluvannyuma lwa Allan Okello, Charles Lukwago ne Nicholas Kasozi okukomawo, Mike Mutebi mugumu nti bagenda kulabya URA ennaku.

 Nicholas Kasozi owa KCCA (ku kkono) ng'attunka n'owa URA.

Nicholas Kasozi owa KCCA (ku kkono) ng'attunka n'owa URA.

KCCA - URA, Lugogo 10:00

OMUTENDESI wa KCCA Mike Mutebi akakasizza ng'abazannyi be mpagiruwagga bwe bakomyewo mu kutendekebwa oluvannyuma lw'okukikirira eggwanga mu mpaka z'okusunsulamu abalizannya eza Afrika.

Allan Okello, Charles Lukwago ne Nicholas Kasozi babadde ne Cranes wabula Mutebi mugumu nti kebaakomyewo agenda kumegga URA. Sizoni ewedde URA yamegga KCCA e Lugogo ku ggoolo 2-1, nga ku luno Mutebi ayagala kubeesasuza.

 utebi     Mutebi

 

KCCA ewangudde emipiira gyaayo 5 egy'omudirigana wabula URA, yo by'esiba bikutuka kuba sizoni eno yaakawangulayo emipiira esatu gyokka nga yasembye kugwa maliri ne Busoga United (0-0).

Mu nsiike y'enkya (Lwakusatu), KCCA eyagala buwanguzi oluvannyuma lw'okukubwa Vipers (1-0), esobole okufunza obubonero obugisingibwa.

KCCA yaakutaano n'obubonero 22 ate URA eri mu kya 12 n'obubonero 15 mu mipiira 12.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...