TOP
  • Home
  • Rally
  • Sharifah Kateete waakuvuga ddigi n'emmotoka e Garuga

Sharifah Kateete waakuvuga ddigi n'emmotoka e Garuga

Added 19th November 2019

Wadde ng'olutalo ku ngule ya MX125 luli wakati wa Wazir Omar ne Fortune Ssentamu, Sharifah Kateete alayidde okubalaga ttalanta e Garuga.

 Abategensi n'abavuzi mu kutongoza empaka.

Abategensi n'abavuzi mu kutongoza empaka.

EKIBANYI kya kugwa n'amenvu ku Ssande e Garuga ng'abavuzi ba ddigi battunka mu mpaka ezaakamalirizo eza ‘Mountain Dew Motorcross Championship' laawundi eyoomusanvu nga ze ziggalawo kalenda ya ddigi.

Ku mulundi guno abawagizi bakunyumirwa emirundi ebiri; ddigi saako ne mmotoka z'empaka ng'era Sharifah Kateete amanyiddwa ennyo mu ddigi waakusomera kitaawe, Abdul Kateete maapu.

 ateete mu katono waakutuula mu mmotoka ya kitaawe ngomusomi wa maapu Kateete (mu katono) waakutuula mu mmotoka ya kitaawe ng'omusomi wa maapu.

 

Sharifah agambye nti, ku mulundi guno waakusabukulula bipya byerere kuba omwezi oguwedde yayiga bingi mu mpaka z'abamaggye eza ‘Armed Forces' omwali okuvuganya okw'amanyi n'abagwira.

Wabula olutalo mu mutendera mwali (ogwokusatu MX125) lusinga kubeera wakati wa Wazir Ali Omar ne Fortune Sentamu abalwanira engule. Wazir akulembedde alina obubonero 297 ng'asinga Sentamu obubonero 52.

 bavuzi nga hadia ateete baakulwanira ennamba ku ttiimu yeggwanga Abavuzi nga Shadia Kateete baakulwanira ennamba ku ttiimu y'eggwanga.

 

Empaka zino abavuzi baakuzeeyambisa okulwanira ebifo ku ttiimu y'eggwanga egenda okuttunka mu mpaka z'amawanga agava mu buvanjuba n'amasekkati ga Afrika nga December 7 e Kenya.

Empaka zaakulagibwa layivu ku Urban TV, eya Vision Group efulumya ne Bukedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...