
Wales yakubye Hungary (2-0) n'eyitamu kyokka Bale ng'ajaganya, yakutte bendera ya Wales nga kuliko ebigambo; Wales; Golf; Real Madrid ekyataputiddwa nti ku lulwe Wales y'ekulembera, golf n'addako olwo Real Madrid n'ekoobera.
Kino kisuubirwa okunyiiza abawagizi ba Real gy'asasulwa pawundi emitwalo 35 nga tekuli musolo buli wiiki olw'obutassa ttiimu yaabwe mu kifo ekisooka.
Bale era yategeezezza ng'omupiira gwakaggwa nti awulira ng'ali mu ‘Ggulu' buli lw'assaako omujoozi gwa Wales.
Ssita ono takwatagana na mutendesi Zinedine Zidane era nga mu July yabulako katono okukansibwa ttiimu y'e China.