TOP

Mbappe agenda mu Real Madrid

Added 20th November 2019

Real Madrid eri mu ssanyu olwa maama wa Kylian Mbappe, okutegeeza nga mutabani we bw’atajja kussa mukono ku ndagaano mpya mu PSG eya Bufalansa.

Mbappe, y'omu ku bamusaayimuto abali ku ttunzi era Real Madrid erudde ng'emuperereza kyokka nga PSG temuta.

Nnyina Mbappe yagambye nti mutabani we amukooye e Bufalansa ng'ayagala agende mu ttiimu endala gy'ataayogedde.

Omutendesi wa Real, Zinedine Zidane y'omu ku bamatira Mufalansa munne (Mbappe) era kigambibwa nti bategese pawundi obukadde 342 okumuggya mu PSG mu June w'omwaka ogujja.

Ddiiru eno singa esonjolwa, Mbappe ajja kumenyawo Omubrazil Neymar mu bbeeyi. Ono PSG yamugula pawundi obukadde 198 okuva mu Barcelona.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...