TOP

Ebya Moses Magogo bibi!

Added 22nd November 2019

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’Ebyemizannyo, Janet Kataha Museveni ayingidde mu nsonga za Pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo.

 Ying. Moses Magogo

Ying. Moses Magogo

Janet yalagidde Kaliisoliiso wa gavumenti (IGG) ---- n'omulung'amya wa Gavumenti ku nsonga z'amateeka --- (Solicitor General) okwetegereza ensonga munnamateeka Allan Mulindwa ze yamuwa (Janet) nga yeemulugunya ku Magogo ku by'okutunda tiketi za World Cup.

Ebbaluwa eyabaddeko omukono gwa Janet, ng'agiwandiikira Mulindwa owa (Mulindwa Association and Co. Advocates) okumutegeeza nti ebbaluwa yamutuukako nga December 17, 2019 era ensonga aziriko.

Neebaza okufaayo ku nsonga zewatuwandiikira mu bbaluwa egamba nti Ying. Moses Magogo yakaligibwa FIFA olw'okukkiriza nti yatunda tiketi ezaali eza Bannayugaanda era tasaanidde kusigala mu ntebe ya FUFA ng'afuna ne ssente za Gavumenti," ebbaluwa ya Janet bwe yabadde esoma.

Kiddiridde, omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana okuwaayo okwemulugunya kwe eri FIFA ng'agamba nti Magogo yeekobaana n'abantu abalala n'atunda tiketi za Bannayuganda zebalaina okugula ku beeyi entono okugenda okulaba World Cup eyali e Brazil mu 2014.

"Njagala okukutegeeza nti ensonga eno olwokuba egwa mu ofissi yange, minisitule esazeewo bweti. Nsabye omulung'amya wa Gavumenti ne Kaliisoliiso okutunula mu nsonga eyo okulambika ku nsonga za mateeka nga Gavumenti tulabe ekiddako," ebbaluwa bwe yayongeddeko.

Gye buvuddeko, FIFA yakaliga Magogo okumala emyezi ebiri nga teyeenyigira mu nsonga za mupiira okumala emyezi ebbiri era ekibonerezo kye kirina kugwaako nga 10 December addeyo mu ofiisi. 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...