TOP
  • Home
  • Ebikonde
  • Omumerika Wilder yeddizza omusipi gw'ebikonde

Omumerika Wilder yeddizza omusipi gw'ebikonde

Added 24th November 2019

Wilder alwana kweddiza musipi mu buzito obw'enjawulo mulundi gwa 11.

 Ortiz (ku ddyo) ng'atwalira Wilder ekikonde mu lulwana olwabadde mu Amerika.

Ortiz (ku ddyo) ng'atwalira Wilder ekikonde mu lulwana olwabadde mu Amerika.

OMUMERIKA Deontay wilder, 34, alaze ensi ali mu luse lwa bakafulu mu bikonde mu buzito bwa heavy weight bwe yaggunze Luis Ortiz eng'uumi tonziriranga mu laawundi eyoomusanvu.

Wilder yeddizza omusipi gwa WBC mu lulwana olwabadde mu MGM Grand Arena mu kibuga Las Vegas ekya Amerika mu kiro ekikeesezza leero.

Guno mulundi gwa 10 nga Wilder yeddiza omusipi era yenkanye likodi ya Muhamad Ali (kati omugenzi) gye yassaawo wakati wa 1974-1978.

Abaggunzi b'ebikonde bana be baakeddiza emisipi emirundi esoba mu 10 era kino Wilder ky'alwana okutuukako.

Wadde nga Ortiz yakize Wilder mu kukasuka eng'uumi, obugumiikiriza (Wilder) bwe yalaze bwamuyambye okutuuka ku buwanguzi.

Wilder alinze kwang'anga anaawangula ku Andy Ruiz Anthony Joshua mu lulwana olunaabeera mu kibuga Riyadh ekya Saudi Arabia.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.