TOP
  • Home
  • Ebikonde
  • 'Temweyambisa bikonde mu bumenyi bw'amateeka

'Temweyambisa bikonde mu bumenyi bw'amateeka

Added 25th November 2019

Abazannyi b'ebikonde balabuddwa okukomya omuze gw'okubyeyambisa mu bumenyi bw'amateeka

 Tumusiime (mu mpale emmyuufu), nga bubeefuka ne Andrew Iga

Tumusiime (mu mpale emmyuufu), nga bubeefuka ne Andrew Iga

ABAKUBI b'ebikonde balabuddwa  obutabikozesa mu bumenyi bw'amateeka wabula okubifuula omulimu ogujja okubatuusa ku  birungi.

Lawrence  Kalyango, omutendesi  Copab Boxing Club, yagambye nti abantu abakyamu abeeyambisa ebikonde mu bumenyi bw'amateka be babireetera okuvumaganyizibwa, n'abazadde okutiisa abaana baabwe okubyetabamu, sso nga muzannyo mulungi nnyo.

Yabadde mu mpaka ezaategekeddwa ttiimu ez'enjawulo okwongera okuwawula abazannyi baabwe, ezaabadde ku bbaala ya Just Life e Mulago ku Ssande. Kiraabu mwabaddemu; Police, Kyebando , Copab, Kololo n'endala.   

Waasooseewo abazannyi abali wansi w'emyaka 20, n'oluvannyuma abakulu ne baddawo.

Oluzannya olwasinze okucamula abawagizi lwabaadde wakati wa Rajab Kibira (Kololo), omukinjaagi mu Lufula y'oku Kaleerwe ne Jamir Bullet Bullet (Rhino),  omusuubuzi w'amatooke mukifo kye kimu, nga buli ayagala okulaga munne nti yasinga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...