TOP

Aguero asubiddwa ogwa ManU mu Premier.

Added 25th November 2019

Ekizibu ekisinze okutawaanya Man City sizoni eno bwe buvune nga bassita okuli; Laporte, Sane n'abalala bonna balwadde.

 Aguero ng'ali mu bulumi olw'obuvune.

Aguero ng'ali mu bulumi olw'obuvune.

ABAWAGIZI ba ManU, bafunye akaseko ku matama oluvannyuma lw'okukitegeera nti omuteebi wa Man City, Sergio Aguero si waakuzannya nsiike yaabwe nabo bwe banaaba battunka mu Premier.

Aguero, yafunye obuvune bwe baabadde bawangula Chelsea ggoolo 2-1 mu Premier ku Lwomukaaga era oluvannyuma lw'omupiira, Pep Guardiola yategeezezza nti omuteebi we ono waakusubwa emipiira egy'enjawulo.

Aguero yafunye obuvune mu katumbugulu era we banaazannyira ManU mu Premier nga December 7, ajja kuba tannassuuka.

Omuteebi ono, tasuubirwa kuzannya gwa Shakhtar mu Champions League ssaako ogwa Newcastle ne Burnley mu Premier.

Ono yeegasse ku Ayemric Laporte, Leroy Sane n'abazannyi abalala bonna abakyali ku miggo olw'obuvune.

Man City eri mu kyakusatu mu Premier ku bubonero 28 nga Liverpool ekulembedde ebasinga obubonero mwenda.

Aguero y'akulembedde abateebi ba Man City nga yaakabateebera ggoolo mwenda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...