TOP
  • Home
  • Rally
  • Kalenda ya ddigi egaddwa mu sitayiro

Kalenda ya ddigi egaddwa mu sitayiro

Added 25th November 2019

Fortune Ssentamu ne Maxim Van Pee beeyabizza ebifuba nga buli omu ayagala okukakasa abawagizi be nti wa mutawaana.

 Fortune Sentamu (ku kkono) ng'ayisa Ismail Mukiibi.

Fortune Sentamu (ku kkono) ng'ayisa Ismail Mukiibi.

LYABADDE ssanyu gyerere ng'abavuzi ba ddigi baweebwe engule zaabwe mu mitendera egy'enjawulo oluvannyuma lw'okumaliriza empaka za laawundi eyasembyeyo ku kalenda eggulo e Garuga.

 bawagizi nga beekubya ne sentamu ebifaananyi Abawagizi nga beekubya ne Ssentamu ebifaananyi.

 

Enduulu yabutikidde e kisaawe nga Fortune Ssentamu ne Maxim Van Pee baabika ebifuba mu lukontana olwasembyeyo oluvannyuma lwa Ssentamu okumalirizza enkontana ze (3) mu mutendera mw'avugira.

 an ee ngagoba sentamu Van Pee ng'agoba Ssentamu.

 

Obwedda Ssentamu akola obukodyo mu bbanga n'atuuka n'okubuusa ddigi  mitti saako n'okukuba Van Pee amataala ekintu egyaggye abawagizi be mu mbeera ne batuuka n'okwebuuza nti bulijjo omutindo guno agutekawa.

 sentamu ngayisizza li mar Ssentamu ng'ayisizza Ali Omar.

 

Mitendera emirala egy'asinze okukwata abawagizi omubabiro kwabaddeko ogw'abato MX50cc, Ogwokuna MX85cc, Ogwokutaano MX65cc era Gift Ssebuguzi, Pascal Kasozi, Miguel Katende, Waleed Ali Omar, William Blick, Ashraf Mbabazi ne Isaiah Larry Ssekamwa bavudde e Garuga nga bali omu abatenda.

 ift sebuguzi mu bbanga Gift Ssebuguzi mu bbanga.

 

 kuva ku ddyo ye iguel atendeshraf babazi ne alha ateete ku kkono Okuva ku ddyo ye Miguel Katende,Ashraf Mbabazi ne Talha Kateete ku kkono

 

Abawanguzi bawereddwa ebirabo eby'enjawulo okuva mu Ntende Properties, Shell ne Mountain Dew. Ashrah Mbabazi Jr yawangudde mu MX50 Jr, Miguel Katende (MX50cc), Gift Ssebuguzi (MX65cc), Waleed Ali Omar (MX85cc), Isabella Blick (65cc), Aminah Zawedde (MX85cc), Wazir Ali Omar (125), Sharifa Kateete (125) ne Maxim Van Pee (MX1).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...