TOP

Abembogo bacacanca lwa muvujjirizi

Added 26th November 2019

Ttiimu y'Ekika ky'Embogo amaliridde okweddiza Engabo y'emipiira gy'Abaganda

 Abakozi ba MK Publishers nga basanyukidde Engabo.

Abakozi ba MK Publishers nga basanyukidde Engabo.

ENJOGERA egamba nti ‘alina yayongerwako', yatuukidde bulungi ku ttiimu y'Ekika ky'Embogo oluvannyuma lw'abavujjirizi baayo, aba MK Publishers okubakakasa nga bwe bagenda okwongera okubateekamu ssente sizoni ejja.

Embogo ye nnatameggwa w'empaka z'Ebika oluvannyuma lw'okukuba Ekkobe ggoolo 1-0 ku fayinolo eyali e Masaka.

Ku Mmande, abakungu ba ttiimu eno  abaakulembeddwa  kapiteeni Henry Kiwanuka ne Shemmy Ssenkatuuka, ssentebe,  baagenze mu MK Publishers okubanjulira Engabo mu butongole n'okubasiima okubateekamu ssente ezaabasobozesa okugiwangula.

"Tugenda kwongera okubateekamu ssente ng'akabonero k'okubasiima n'okubazzaamu amaanyi aganaabasobozesa okuddamu okweddiza Engabo eno," Samuel Majwega, ssentebe wa MK Publishers, bwe yeeyamye.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugagga Ham eyakulembeddemu bannanyini bizimbe mu lukiiko ne Amelia Kyambadde

Bannanyini bizimbe balemedd...

AKAKIIKO kebassaawo okubaga ebinaagobererwa kisobozese okuggulawo akeedi z’omu Kampala kamalirizza lipooti eno...

Jackson Musisi kitunzi w'essaza lya Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kamoga obuvunaanyizibwa bw'essaza

Aba ttiimu y'essaza lya Gom...

OLUVANNYUMA lw’ Essaza lya Gomba okusaasaanya ssente empitirivu mu kugula abazannyi, abakungu baalyo bafunyemu...

Omutendesi Bamweyana ng'assa ku ndagaano omukono

Omutendesi Bamweyana olwega...

OMUTENDESI omuggya owa Wakiso Giants FC mu Star times Uganda Premier League, Douglas Bamweyana asuubizza omupiira...

Bryan White kati asizza ku ku byuma

Bryan White mulwadde muyi: ...

Bryan White mu kiseera kino asizza ku byuma amaze wiiki biri mu ddwaaliro ly'e Nakasero kyokka embeera ye ekyagaanye...

Kato Lubwama nga tebannamulongoosa

Omubaka Kato Lubwama bamulo...

OMUBAKA Kato Lubwama ( Lubaga South) amaze essaawa ssatu mu sweeta ng'abasawo bamulongoosa n'okumwekebegya omulundi...