TOP

Unai Emery byongera kumwonoonekera

Added 26th November 2019

Buli lukya omulimu gwa Unai Emery ogw’okutendeka Arsenal gusemberera okuggwaawo.

Kigambibwa nti boodi ya Arsenal yandiwalirizibwa okumukwata ku nkoona olw'okutya nti bw'asigala abazannyi ‘bassiniya' bayinza okwabulira ttiimu eno.

Bano kuliko Alexandre Lacazette ne Pierre-Erick Aubameyang abakyagaanyi okuteesa ku by'okwongezaayo endagaano.

Bassita bano nti baagala kuzannya Champions League sizoni ejja kyokka okusinziira ku mutindo gwa Arsenal kati, boodi terabawo ssuubi lya ttiimu eno kumalira mu ‘Top 4'.

Arsenal yaamusanvu mu Premier eya ttiimu 20 ng'erina obubonero 18 mu mipiira 13.

Abatendesi abalowoozebwa okuvaako asikira Emery kuliko; Maximiliano Allegri eyali mu Juventus, Mauricio Pochettino eyagobeddwa mu Juventus ne Mikel Arteta, amyuka Pep Guardiola mu Man City.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....