
Yagambye nti Pochettino mutendesi mulungi nnyo agya mu ManU nti kyokka kirabika ekyayagala okutambulira mu kugezesa ‘omwana waayo' Ole Gunnar Solskjaer.
Pochettino yagobeddwa Spurs wiiki ewedde n'asikirwa Jose Mourinho.
Carragher yagambye nti Solskjaer ajja kutuuka aleme okuzza ttiimu engulu ng'ate Pochettino yava dda ku mudaala n'awa ManU amagezi nti, "Mwandiyanguye okumwesooka."
ManU yalemaganye ne Sheffield United (3-3) mu Premier ku Ssande nga kati yaamunaana ku ttiimu 20. Erina obubonero 17 mu mipiira 13