TOP
  • Home
  • Ebirala
  • UCU ne City Oilers batandise olutalo lw'okulwanira ekikopo kya basketball

UCU ne City Oilers batandise olutalo lw'okulwanira ekikopo kya basketball

By

Added 27th November 2019

Fayinolo ya basketball yaakuzannyibwa mu nkola ya 'best of seven' ng'omuwanguzi waakusalwawo ne ttiimu eneesinga okuwangula emizannyo emingi.

 Abazannyi ba  JKL Dolphins nga batagaza aba UCU Lady Canons.

Abazannyi ba JKL Dolphins nga batagaza aba UCU Lady Canons.

Mu fayinolo za basketball;

UCU Canons - City Oilers

JKL Dolphins - UCU Lady Canons

OLUTALO lw'okulwanira ekikopo kya liigi y'eggwanga eya basketball

lutandika leero wakati City Oilers abakirina ne UCU Canons. Ekiro kya leero (Lwakusatu) November 27, mu MTN Arena, entuuyo

zaakusazibwa bibatu nga bannantameggwa ba liigi ya basketball emirundi 6 egy'omuddiring'anwa aba City Oilers balwana okweddiza ekikopo kino omulundi ogwomusanvu, battunka ne UCU Canons abanoonya ekisooka.

Bano baakuttunka mu nsiike musanvu nga ssinga ttiimu emu ewangulako emirundi ena, ejja kuba erangirirwa ku bwa kyampiyoni bwa sizoni eno.

Eno fayinolo yaakwemala ggayang'ano oluvannyuma lwa ttiimu zombi okugabana wiini mu gy'ebibinja.

 onny rileba owa ity ilers nomupiira Tonny Drileba owa City Oilers n'omupiira

 

UCU Canons yawangula ensiike eyasooka (90-82) ate ne Oilers ne yeesasuza mu eyookubiri (67-64).

City Oilers okutuuka ku fayinolo yaggyeemu Kyambogo Worriors (3-1) ate UCU Canons yawanduddemu Betway Powers (3-1).

Mu ngeri y'emu, JKL Dolphins abalina ekikopo kya sizoni ewedde mu bakyala nabo batandika leero olugendo lwa nzannya musanvu ne UCU Lady Canons okufunako kyampiyoni wa sizoni eno.

Mu gy'ebibinja JKL yawangula ensiike zombi (76-67, 77-66) wabula bonna beesomye okweyuzaayuza kuba buli omu ekikopo akyagala.

JKL Lady Dolphins okutuuka ku fayinolo yawanduddemu KIU Rangers (3-0) ate UCU Lady Canons yaggyeemu KCCA Leopards (3-0).

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...