TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Fergie awaanye omutendesi wa Sheffield United

Fergie awaanye omutendesi wa Sheffield United

Added 29th November 2019

Omutindo gwa ManU ensangi zino guyuuga era nga mu kiseera kino eri mu kyamwenda ku bubonero 17.

 Fergie (ku kkono) ne Wilder owa Sheffield United.

Fergie (ku kkono) ne Wilder owa Sheffield United.

OMUTINDO Sheffield United gw'eyolesa ennaku zino, gucamudde eyali omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson n'awaana kooci waayo nga bw'ali omutendesi ow'enjawulo.

Nga ManU eremagana ne Sheffield United ggoolo 3-3, omupiira olwaggwa Fergie n'asaba abayambi be bamutwale mu ofiisi ya Chris Wilder.

Sheffield, y'emu ku ttiimu ezifuukidde abanene ekyambika nga yasooka kukuba Arsenal, n'egwa amaliri ne Chelsea ssaako ManU. Bali mu kifo kyamukaaga ku bubonero 18.

Wilder ng'akyatendeka ttiimu za wansi, agambibwa nti yeegombanga Fergie mu kiseera ekyo eyali atendeka ManU.

Akafubo Fergie ke yabaddemu ne Wilder kaamaze essaawa nnamba era wadde ng'abaamawulire tebaategeezeddwa mu butongole byayogeddwaako, kigambibwa nti baanyweddemu kawayini era Fergie n'ayongera okuwa Wilder obukodyo bw'ayinza okugatta mu ttiimu ye.

  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...

Abatuuze nga bali mu lukiiko.

Batabukidde omusamize mu lu...

ABATUUZE b’e Jjokolera mu ggombolola y’e Nangabo mu disitulikiti y’e Wakiso balumirizza omusamize okubateega n’abawamba...

Ssaabasumba Lwanga n'omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi.

Abaserikale musse ekitiibwa...

SSAABASUMBA w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye abakuumaddembe okuyisa obulungi Bannayuganda...

Omusomesa ng'akebera omuyizi corona virus.

Minisitule y'ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ekoze enkyukakyuka mu birina okusomesebwa abayizi ba P7 abazzeeyo ku masomero n’ab’ebibiina...