TOP

Liigi ya rugby etandise na bbugumu

Added 2nd December 2019

Hima Heathens eraze nti eyagala kweddiza ekikopo kya rugby omwaka guno bw'etandise n'okuwuttula Betway Kobs mu liigi

 Omuzannyi wa Plascon Mongers (ku kkono) ng'awaguza ekisenge kya  Buffaloes

Omuzannyi wa Plascon Mongers (ku kkono) ng'awaguza ekisenge kya Buffaloes

Liigi ya Super eya Rugby:

Hima Heathens 06-00 Betway Kobs

FT Buffaloes 12 - 22 Mongers

Pirates 12 - 00 Rhinos

Impis 10 - 17 Warriors

Ekibinja kya wansi:

Sailors 22 - 00 Kifaru

Hippos 10 - 06 Rams

Pacers 33 - 06 Rams 2

Stallions 8 - 03 Boks

HIMA Heathens, bannantameggwa ba liigi y'eggwanga eya rugby, yatandise na bbugumu bwe baakubye Betway Kobs ku bugoba 06-00 mu zimu ku nzannya ezagguddwo  sizoni.

Omupiira guno, mu liigi eyakyusizza erinnya okuva ku Nile Special Rugby League okudda ku Nile Special Stout,  gwazannyiddwa ku bitaala mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga, ku kisaawe kya Kyaddondo.

Wabula bo aba Toyota Buffaloes baatyoboddwa Plascon Mongers gye baakyazizza okuva e Ntebe, eyabakubye ku bugoba 22-12.

Kkampuni ya Nile Breweries, abassa ensimbi mu liigi eno, ku mulundi guno bataddemu obukadde 670, okuva ku 150, n'ekigendererwa ky'okutumbula omuzannyo nga batandikira ku kiraabu. Ceeke yakwasiddwa abakulira ekibiina kya Uganda Rugby Union, ekibiina ekiddukanya omuzannyo guno mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...