TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Brendan Rodgers yeesammudde eby'omulimu gwa Arsenal

Brendan Rodgers yeesammudde eby'omulimu gwa Arsenal

Added 2nd December 2019

Leicester y'emu ku ttiimu ezisinga okuba ku ffoomu mu kaseera kano nga mu kiseera kino, ewangudde emipiira gyayo etaano egisembye mu Premier.

 Rodgers omutendesi wa Leicester.

Rodgers omutendesi wa Leicester.

NGA Arsenal eri ku muyiggo gwa mutendesi wa nkalakkalira anaasikira Unai Emery eyagobeddwa, omutendesi wa Leicester, Brendan Rodgers yeetegudde eby'okugutwala.

Rodgers, omu ku batendesi abali ku ffoomu olwa ttiimu ye okubeera mu kyokubiri mu Premier agambibwa okuba nti musanyufu mu Leicester.

Oluvannyuma lw'okuva emabega ne bawangula Everton ggoolo 2-1, Rodgers yabuuziddwa oba ng'alinamu ekirowoozo ekyabulira Leicester.

 mery abadde omutendesi wa rsenal nga yagobeddwa wiiki ewedde Emery abadde omutendesi wa Arsenal nga yagobeddwa wiiki ewedde.

 

Mu kwanukula, eyaliko omutendesi wa Liverpool ne Celtic ono, yagambye nti musanyufu olwa ttiimu ye okukola obulungi kyokka ate bwe yabuuziddwa akawaayiro akali mu ndagaano ye singa wabaawo ttiimu yonna emwagala, yagambye nti ka bukadde bwa pawundi 14.

Kino kyalaze nti kituufu Rodgers yeegwanyiza omulimu gwa Arsenal.

Leicester eri mu kyakubiri ku bubonero 32 mu mipiira 14 era ye ttiimu erina enkizo okulemesa Liverpool okuwangula ekikopo.

 reddie jungberg omutendesi wa rsenal owekiseera Freddie Ljungberg omutendesi wa Arsenal ow'ekiseera.

 

Leicester yawangula ekikopo kya Premier mu 2015-16 ng'eri wansi wa Claudio Ranieri era abawagizi baayo balowooza nti bakyasobola okuddamu okukola ebyamagero sizoni eno.

Mu kiseera kino, Arsenal terina mutendesi wa nkalakkalira oluvannyuma lwa Unai Emery okukwatibwa ku nkoona nga mu kiseera kino, Freddie Ljungberg y'aliwo ng'omutendesi ow'ekiseera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...