TOP

Marco Silva akeesa lukya...

Added 2nd December 2019

Omutendesi Marco Silva atuula matiitiiri olw’ekigambibwa nti ebbaluwa emugoba bakama be baamaze dda okugiwandiika.

 Marco Silva

Marco Silva

Everton yakubiddwa Leicester City (2-1) mu Premier ku Ssande ne kyongera okussa omulimu gwa Silva mu lusuubo.

Omunigeria Iheanacho ye yateebye ggoolo ey'obuwanguzi mu ddakiika esembayo eyalese Everton mu kifo eky'e 17 ku ttiimu 20. Erina obubonero 14 mu mipiira 14 ate nga ku Lwokusatu ekyalira Liverpool.

Ensonda mu Everton zigamba nti Marco Silva aweereddwa omupiira gumu gwokka ogwa Liverpool nga singa alemwa okuguwangula waakukwatibwa ku nkoona.

Eby'embi eri Silva, ebyafaayo bya Everton si birungi ng'ekyalidde Liverpool.

Emaze emyaka 20 nga tewangulira ku Anfield. Yasemba okuggyayo obuwanguzi nga September 27, 1999 bwe yakuba Liverpool (1-0) mu Premier.

Liverpool tennakubwamu mu Premier sizoni eno ng'erina obubonero 40 mu mipiira 14.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...

Abakuumaddembe nga batwala omulambo gw'omukazi eyattiddwa.

Ab'e Nansana beeraliikirivu...

Abatuuze b'e Nansana beeraliikirivu olw'abantu abazze bawambibwa ate oluvannyuma ne basanga nga battiddwa mu bukambwe....

Bebe Cool.

Bebe Cool alabudde Nubian L...

Bebe Cool alabudde omuyimbi Nubian Lee ne Pulodyusa Dan Magic n'abasaba okukomya okwenyigira mu bikolwa ebisoomooza...