TOP

Ole Gunnar Solskjaer ali ku puleesa

Added 2nd December 2019

Puleesa yeeyongedde ku mutendesi wa ManU, Ole Gunnar Solskjaer bwe bagudde amaliri ne Aston Villa (2-2) ku Old Trafford ne bongera okumukubamu ebituli nti ayongedde kubbika ttiimu bukya asikira Jose Mourinho.

 Ole Gunnar Solskjaer

Ole Gunnar Solskjaer

Lwakusatu mu Premier;

ManU vs Spurs

Ku Lwokusatu, ManU ekyaza Spurs, eyakansizza Mourinho era ng'abatunuulizi baalaze dd anti ManU eyongedde kusereba okuva Mourinho we yagireka.

Mu mipiira 14 egya Premier, ManU erina obubonero 18 sso nga ku Mourinho sizoni ewedde, yalina obubonero 22.

Abakugu bagamba nti ManU bw'eremwa okukuba Spurs, Solskjaer yandikwatibwa ku nkoona nga boodi (eya ManU) teyinza kugumira kuswala ng'omutendesi gwe baagoba abakajjaliddeko ku Old Trafford.

Okuva Mourinho lwe yakutte enkasi, Spurs ewangudde emipiira gyayo gyonna esatu sso nga ManU tennawangulayo mipiira ebiri giddiring'ana sizoni eno.

ManU yaamwanda mu Premier sso nga Spurs yaakutaano ku bubonero 20 mu mipiira 14.

Mourinho yasikidde Mauricio Pochettino eyagobeddwa ng'alemeddwa okusitula Spurs.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...