TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Eyawangudde emifumbi akolerera za Bulaaya

Eyawangudde emifumbi akolerera za Bulaaya

Added 2nd December 2019

Isaac Mubikirwa, asitukidde mu mpaka za Mr. Uganda ez'okusiba emifumbi

 Isaac Mubikirwa ng'avuganya ku fayinolo ya Mr.Uganda

Isaac Mubikirwa ng'avuganya ku fayinolo ya Mr.Uganda

Omuziimbi w'emifumbi, Isaac Mubikirwa alaze bw'akyali nnantameggwa mu muzannyo guno bwe yawangudde obwa Mr. Uganda omulundi ogwokusatu ogw'omuddiring'anwa.

Mubikirwa, nga nnaansi omusajja, akolera ku ggiimu ya University of Pain, yasooka kuwangula mu 2017 n'omwaka oguwedde, era yategeezezza nti  atunuulidde kuvuganya mu mpaka za Bulaaya omwaka ogujja.

Yavuganyirizza mu bizito bwa Lt. Heavyweight, kkiro 80-85,  n'asooka abamegga okuyingira fayinolo mwe yavuganyirizza n'abaawangudde mu bizito obulala. Kuliko;  Ronald Kalule eyakutte ekyokubiri eyawangudde mu bizito bwa middleweight, Godfrey Lubega (kyakusatu)okuva mu buzito bwa Walterweight (nga ye Mr. Kampala omwaka guno), Daniel Mwesigwa (Heavyweight), Abdul Lubega (Light Weight) ne Haksman Kisekka (Bantam weight).

"Omubiri gubadde mulungi nga kivudde mu kukola nnyo . Kati ntuluulidde za Bulaaya," Mubikirwa bwe yagambye.

Abazannyi 60 be bavuganyizza mu mpaka za Mr. Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minista Haruna Kasolo ng'asomesa ku kwekulaakulanya n'enkozesa y'ensimbi za MYOOGA

Abatuuze b'ekira basomesedd...

MINISITA omubeezi akola kunsonga z'ebibiina byobwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, akubiriza abantu okwebereramu nga...

Aba Twaweza bafulumizza ali...

KUNOONYEREZA kuzudde nti ab’enganda okusaba abantu babwe sente okubayambako okuvvuunuka embeera kifuuse kyabulijjo...

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...