TOP

Buganda eri bubi mu FUFA Drum

Added 2nd December 2019

Pulovinsi ya Buganda etandise bubi mu mpaka za FUFA Drum, kyokka baweze okufiira ku Acholi okutangaaza emikisa egyeyongerayo ku semi

 Isaac Otto  owa Acholi (ku kkono) ng'akulukuta n'omupiira. Ku ddyo ye  Enock Walusimbi owa Buganda.

Isaac Otto owa Acholi (ku kkono) ng'akulukuta n'omupiira. Ku ddyo ye Enock Walusimbi owa Buganda.

Egyazanyiddwa

Bukedea 2-1 Tooro

Acholi 1-0 Buganda

Ku Lwokubiri

Acholi-Tooro 8:00

Bukedea-Buganda 10:00

BANNANTAMEGGWA bw'omwaka oguwedde aba Buganda, tebyabagendedde bulungi mu mupiira gwabwe ogwasoose ku ‘quarter' y'empaka za pulovinsi eza FUFA Drum.

Buganda yakubiddwa Acholi ggoolo 1-0 mu mupiira ogwaguddewo oluzannya luno mu kibinja B mwe bali ne Bukedea ssaako Tooro.

Kino kyasannyalazza emikisa gya Buganda okweyongerayo ku semi, ng'okuddamu essuubi, balina okuwangula Bukedea, ate ne basaba Tooro akube Acholi akulembedde,  oba bakole amaliri.

Singa Buganda eremererwa okukuba Bukedea, ne Tooro n'eremererwa okukuba Acholi, kitegeeza nti Bukedea ne Acholi Bagenze ku bubonero 6 nga Uganda n'ebwegoba ogusembayo tekigitaasa kuba yo ne Tooro tebalina wadde akabonero.

Kyokka ne Bukedea eyakubye Tooro 2-1, okwongera okwenyereza mu kuvuganya ku kyokubiri, ewera kufiira ku Buganda.

"Tugenda kukola ekisoboka  okulaba nga tudda engulu oluvannyuma lwa  Martin Mpuga ne Said Kyeyune okutwegattako okwongera okuggumiza ttiimu, " Alex Isabirye, atendeka Buganda bwe yagumizza.

Mu ngeri y'emu, abasogozi b'omwenge gwa Eagle Poa okuva mu Nile Breweries baakakasizza okuvujjirira empaka zino okumala emyaka esatu, nga buli mwaka baakuwaayo obukadde 250/-, mu kutimba ebisaawe, okugula emijoozi, ekikopo, emidaali n'ebirabo ebirala.

Tito Okello (Acholi) ne Fredson Gwoto (Bukedea) baaweereddwa emitwalo 10 olw'okusukkuluma ku  bannaabwe mu mipiira gyombi ku Pece War Memorial Stadium.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...