TOP

Shafiq Kiwanuka alinze kavvu wa USPA

Added 3rd December 2019

Omuggunzi w'eng'uumi Shafiq Kiwanuka alidde eky'obuzannyi bwa November

 Ddiifiri Simon Katongole ng'awanika Kiwanuka ku lw'obuwanguzi. Ku ddyo ye Dube

Ddiifiri Simon Katongole ng'awanika Kiwanuka ku lw'obuwanguzi. Ku ddyo ye Dube

OMUGGUNZI w'enguumi Shafiq Kiwanuka alinze kavvu wa mitwalo 50 oluvannyuma lw'okuwangula engule y'omuzannyi asinze abalala mu November.

Obuwanguzi Kiwanuka bwe yatuseeko ku Lwokutaano, bwe yamezze Thamsanq Dube owa Zimbabwe ku musipi gwa Africa ogw'ekibiina kya World Boxing Federation (WBF), bwe bwamulonzezza.

Bannamawulire abawandiika ag'emizannyo abeegattira mu kibiina kya Uganda Sports Press Association (USPA) baamulangiriridde mu lutuula lwabwe olwa buli mwezi, ‘Nile Special - USPA monthly meeting' ku wooteeri ya Imperial Royale ku Mmande.

Yamezze kiraabu ya Betway Kobs eya Rugby, eyawangudde Uganda.

Waakusiimibwa mu January n'omuddusi Joshua Cheptegei eyawangudde mu October wamu n'anaawangula mu December.

Abalala abaasiimiddwa mu November ye Isaac Mubikirwa ow'emifumbi, eyawangudde ekya Mr. Uganda, ttiimu za volleyball ne handball eza yunivasite y'e Nkumba ezaawangudde liigi y'eggwanga, ttiimu y'eggwanga ey'okuwuga eyakutte ekyokubiri mu za ‘Africa Zone 4' e Kenya ne Prisons ey'abasajja eyawangudde handball.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.