
Ole Gunnar Solskjaer
Mu kutendekebwa kw'oku Mmande, Solskjaer agambibwa nti yabbidde ku bazannyi be nga bw'agenda okugobwa singa Spurs ne Man City zimukuba kuba emipiira gyombi giriko obukuku.
Spurs kati etendekebwa Jose Mourinho, gwe yaddira mu bigere sso nga Man City eri kabwa na ngo ne ManU olw'okuva mu kibuga ekimu (Manchester).
ManU ekyaza Spurs enkya ku Old Trafford ate ku Lwomukaaga ekyalire Man City ku Etihad stadium.
Ku Ssande, ManU yalemaganye ne Aston Villa (2-2) ku Old Trafford ekyagirese mu kifo ekyomwenda mu Premier ku bubonero 18 mu mipiira 14. Sizoni eno, ManU tennawangula mipiira 2 giddiring'ana mu Premier.
Okutya kwa Solskjaer kweyongedde oluvannyuma lwa Mauricio Pochettino eyagobeddwa mu Spurs okutegeeza nti mwetegefu okutendeka ttiimu yonna emutuukirira kati.