TOP

Arsenal gakyagyesibye ku mutendesi

Added 3rd December 2019

OBUGANIRIZA bw’ensimbi mu boodi ya Arsenal ekulirwa Omumerika Stan Kroenke, bugitadde awazibu ku muyiggo gw’eriko ogw’omutendesi.

 Freddie Ljungberg

Freddie Ljungberg

Kigambibwa nti abatendesi abagundiivu bagaanyi omulimu guno olw'omusaala omutono ate nga ne boodi ya Arsenal tekkiriza kubawa nsimbi zeegasa kugula bassita banaggumiza ttiimu.

Mu batendesi abagambibwa okuzira Arsenal kuliko; Carlo Ancelotti, ali ku ndeboolebo y'okugobwa mu Napoli eya Yitale, Massimiliano Allegri, eyagobwa mu Juventus ku nkomerero ya sizoni ewedde, ne Mauricio Pochettino, eyagobeddwa mu Spurs.

Arsenal yataddewo Freddie Ljungberg ng'omutendesi ow'ekiseera oluvannyuma lw'okugoba Unai Emery ng'alemeddwa okusitula omutindo gwayo.

Kigambibwa nti boodi yandisemba Ljungberg afuuke ow'enkalakkalira oba okuleeta Mikel Arteta, amyuka Pep Guardiola owa Man City. Bano baagalwa lwa butabeera ba buseere sso si bakugu nnyo mu butendesi.

Arsenal yaamunaana mu Premier ng'erina obubonero 19 mu mipiira 14. Ku Lwokuna, Arsenal ekyaza Brighton mu Premier.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...