
Jose Mourinho omutendesi wa Spurs.
Omutendesi wa Spurs, Jose Mourinho agambye nti si mulabe wa ManU wadde nga yamugoba mu December w'omwaka oguwedde.
Mourinho waakukulemberamu Spurs balumbe Old Trafford okuttunka ne bannyimu mu Premier.
Bwe yabuuziddwa oba nga anaaba mucamufu ng'akyalidde ttiimu eyamukwata ku nkoona, Mourinho agambye nti talaba nsonga emweraliikiza kuba mu ManU teyalemwa kuba yabawangulira ebikopo.
"Nsuubira abawagizi okumpa ekitiibwa nange kuba sibalinaako lutalo wadde nga nzize kuwangula mupiira guno," Mourinho bwe yategeezezza bannamawulire.
Omuportugal ono yeegatta ku ManU mu June wa 2016 ng'asikira Louis van Gaal.
Mu bbanga eryo, yabawangulira ebikopo bisatu okwali ekya Carabao Cup, Community Shield ne Europa League.
Spurs, omupiira gwa leero egwagalamu buwanguzi bwokka mu kaweefube waayo ow'okudda mu bana abasooka.
Nga ManU nayo erwana okuva mu bifo ebigiswaza, Ole Gunnar Solskjaer omutendesi waayo agambye nti tagenda kukkiriza Spurs kumuswalira mu maaso g'abawagizi be.
ManU eri mu kyamwenda ku bubonero 19.