TOP
  • Home
  • Ebirala
  • UCU Lady Canons ewangudde n'edda mu kintu

UCU Lady Canons ewangudde n'edda mu kintu

By

Added 5th December 2019

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.

 Aba UCU Lady Canons nga basanyukira obuwanguzi.

Aba UCU Lady Canons nga basanyukira obuwanguzi.

Mu Fayinolo za Basketball
JKL Dolphins 58-69 UCU

UCU Lady Canons eyongedde ebbugumu mu fayinolo y'ekikopo kya liigi ya
basketball bw'ekubye JKL Dolphins  69-58 mu luzannya olwokuna n'edda
mu kibalo.

Ku Lwokuna, ttiimu zombi zadding'anye mu nsiike eyookuna kw'ezo
omusanvu ze balina okuttunka nga babbinkanira ekikopo kya sizoni eno.

JKL ebadde yaakawangulako enzannya bbiri, nga yeetaaga kuwangula yaakusatu
okutangaaza emikisa wabula UCU ebadde yaakawangula ogumu, yaggyeeyo
n'omu buto okufuna obuwanguzi obwokubiri.

Enkya (Lwakutaano) badding'ana mu luzannya olwokutaano nga bonna benkanya wiini
(2-2).

Ttiimu eneesooka okufuna wiini nnya y'egenda okulangirirwa ku
bwakyampiyoni bw'omwaka guno.

 bazannyi ba etway ower nga battunka ne ity ilers etway owers yaakuzannya ogwekifo ekyokusatu ne yambogo orrriors Abazannyi ba Betway Power nga battunka ne City Oilers. Betway Powers yaakuzannya ogw'ekifo ekyokusatu ne Kyambogo Worrriors..

 

Zainah Lokwameri owa UCU ye yasinze okukola obugoba (15), Libbaawundi
5, Rhoda Naggita (14), Rose Akon (11) ate Sarah Ageno n'akola obugoba
12.

Libbaawundi 17 n'ayambako abateebi emirundi ettaano, kyamufudde
omuzannyi eyasinze banne bonna mu muzannyo (MVP).

Stella Oyella ye yasinze okuteebera JKL Dolphins ku bubonero(15)
n'addirirwa Hope(10).

Mu fayinolo y'abasajja, enzannya zaabwe zaayimiriziddwa olwa City Oilers okuba nti egenda kuzannya mu mpaka za Champions of Afrika.

UCU Canons bwe battunke ne City Oilers era enzannya za fayinolo zaakuddamu nga eza Afrika ziwedde nga December 22.

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...