TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Kigulu ekutudde Bunha mu Masaza g'e Busoga

Kigulu ekutudde Bunha mu Masaza g'e Busoga

Added 9th December 2019

Kigulu eweereddwa kavvu oluvannyuma lw'okusitukira mu mpaka z'Amasaza g'e Busoga

 Kyabazinga (owookubiri ku kkono) ng'akwasa aba Kigulu ekikopo

Kyabazinga (owookubiri ku kkono) ng'akwasa aba Kigulu ekikopo

Bya BRUNO MUGOODA

Mu Masaza ‘e Busoga:

(Ekyokusatu)

 Buzaya 1-0 Bukhooli

Fayinolo

Kigulu 1-0 Bunha

ABAZANNYI b'Essaza lya Bunha baawotese abamu ne batuula ku ttaka, nga Wilber Rikupe  ateebedde Kigulu ggoolo mu ddakiika ey'e 88. Baabadde battunka ku fayinolo  y'emipiira gy'Amasaza g'e Busoga ku Ssande e Kakindu.

Oluvannyuma abawagizi ba Kigulu baakoolobezza ennyimba ezisoomooza Ayub Isiko, atendeka Bunha, ne bamulanga okubalyamu olukwe n'alekawo ttiimu yaabwe era nti baamusasudde.

Gwabadde mulundi gwakusatu nga  Bunha ekubirwa ku fayinolo z'empaka zino. Bukhooli North  ye yasooka okugiwangula mu 2016  ne Butembe  mu 2017.

" Tugenda kwetereeza tukomewo  n'amaanyi  sizoni ejja,'' Isiko bwe yategeezezza.

Musaayimuto  Edrine Opaala, 17, owa Buzaya yalondeddwa ng'eyasukkkulumye ku banne mu mpaka zino ate Issa Mugoya (Bukhooli North) n'asinga mu kulengera akatimba, nga yateebye ggoolo 6.

Opaala azanyira tiimu ya Busoga United ento, era nga ye yasinga mu beetaba mu mpaka za COPA Coca Cola, ezaali e Jinja, yateebedde Buzaya ggoolo 4, omwabadde n'eyayambye Essaza  (Buzaya) okumalira mu kyokusatu. Baawangudde  Bukhooli ggoolo 1-0.

Kigulu ku kikopo ekyabakwasiddwa Kyabazinga wa Busoga, Gabula Nadiope,yafuniddeko ne kavvu wa 5,000,000/-, ate  Bunha n'eweebwa 2,000,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...